Introduction
NNAKONGEZALINNYA
Mujeebaleko abayizi,kansubire nti muli bulungi. Olwaaleero tugenda kusoma ku Nnakongezalinnya.
Nnakongezalinnya kyeki?
kye kigambo ekyongera amakulu ku linnya mu mboozi. Wano kitegeeza nti bwebugambo bwetwongera ku mboozi oba ebigambo tusobole okugyayo amakulu.
EBIKA BYA NNAKONGEZALINNYA
Nnakongezalinnya zirina ebika bingi era ebyenjawulo wabula essira tugenda ku lissa ku bikka bino ebibiri wammanga,
- Nnakabala oba Nnansangwa; zino tezirina nsibuko ya mbu za bigambo (ungenerational) okugeza; -lungi, -mbi, -tono, -nnene
- Eza omuwendo ; ziba ziraga obungi bwa erinnya eriba lyogerwako. okugeza bangi,muswaba,kekwa,nkuyanja,nkumulitu,busirikitu.kati nga gwe omuyizi ogenda kukola omulimu ogugenda okuweebwa era onziiremu okusinzira kweekyo ky'ononyereeza.okuddamu kwaffe kugenda kubeera kwa ku watsapp era nga oddamu kusinzira ku mulimu.
- kale mwebale kubeera bayizi balungi era ninze okuddamu kwamwe
Task
OMULIMU
Omulimu guno gunonyerezeeko nga bwolagiddwa era osuubirwa okuddamu mubanga lya wiiki emu.
Weyambise akatabo ka Dan kyagaba akayitibwa Ggulama w'oluganda omusengejje,osobola okajja mu Resource centre (Rm 1.6) oyongere okwekannya ebika bya Nnakongezalinnya ebibiri bye tusomyeko waggulu ,ozuule okusoomoza oba oba obuzibu bwosanze mu kusoma amateeka agafuga enzimba n'enkozesa ya Nnakongezalinnya. Omulimu guno gugenda ku kolebwa ku watsap wabula nga ate gugibwa ku Webquest, okuddamu kusubirwa okubeera ku watsap gy'ogenda okugatibwamu
Process
Abayizi ninze okuddamu kwamwe wabula obudde temubukozeseza bulungi
Oluvannyuma lw'okuzuula Okusoomooza kwamwe kwemusanga nga abayizi..Mukole omulimu guno wammanga era muggudiremu ku watsapp ..
Nnakongezalinnya kye ki ?
Laga ebika bya Nnakongezalinnya ebyenjawulo.
Njawulo ki eriwo wakati wa Nnakongezalinnya ey'omuwendo ne Nakabala.
WETEGEREZZE..
Ninze omulimu ogwo